Republished 4th June, 2020

 

Okwogera kwa ssaabasajja kabaka nga aggalawo ttabamiruka w’abakyala mu buganda ku hotel africana nga 8 may 2019

 

 

“Okusooka okusiima ennyo okubeerawo wano era tusanyuse nnyo okulaba nti muzze mu bungi nnyo bwemuti.

Buli mwaka twesunga okwetaba mu nkungaana nga zino zemuteekateeka ku nsonga ezenjawulo ezinaasobozesa abakyala okwenyigira mu nkulaakulana y’amaka, emirimu n’eggwanga lyaffe okutwalira awamu, era tujja kwongera nnyo okuwagira n’okwenyigira mu nteekateeka zino.

Tutegedde bulungi ensonga y’obulamu obulungi nga bweri enkulu nnyo mu kunyweza enkulaakulana y’abakyala. Omuntu omulamu obulungi yasobola okwetaba mu nkulaakulana y’eggwanga era nokuba nga alabirira abaana, ensonga eno nkulu era tugiwagira nnyo.

Enkulaakulana eyo tujja kujituukako nga ffenna tuvuddeyo okwatuukiriza abo bonna abenyigidde mu kutyoboola eddembe ly’abaana abawala, mu maka, mu masomero ne ku mirimu, eratukubiriza abakyala obutasirika nga bakyala bannammwe bali mu kizibu eky’okutulugunyizibwa n’okubonaabona mu ngeri ez’enjawulo.

Tukimanyi bulungi nti abaana baffe bangi abawala bayisibwa bubi nga banoonya emirimu era zino ensonga zituuka bulungi ku bakulembeze naye tebafuddeyo okuteekawo amateeka aganaakola ku mbeera eyo era n’okulwanyisa ebbula ly’emirimu.

Kinakuwaza nnyo okuwulira okweyongera kw’abakyala abattibwa, abalala babonaabona mu ngeri ez’enjawulo, era wano wetwebuuza nti abantu baffe banaddukira wa okutaasibwa embeera nga zino.

Twongera okwewuunya nga police egenda mu maaso n’okunoonyereza naye nga okunoonyerea okwo tekukoma, ate nga ebivudde mu kunoonyereza nga tebyanjulwa era tewali abimanya.

Ensonga ng’ezo nendala ezirinnyirira eddembe ly’abakyala era nga zituuka n’okulemesa enkulaakulana zetaaga zikolebweko mu bwesimbu abantu baleme kuggwamu essuubi eri abakulembeze baabwe n’abantu abakuuma eddembe.

Nga maliriza njagala okwebaza ennyo abategesi b’omusomo guno olwaleero era nammwe mwenna abagwetabyemu”.

 

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II signing an autograph on a chart to commission next year's Buganda Women's conference

The queen of Buganda Kingdom Sylvia Nagginda rallied women to embrace personal hygiene and act as role models to their children.

Speaking at the opening of the 6th Buganda Women’s Conference in Kampala, Her Royal Highness Sylvia Nagginda said that most aspects of personal hygiene are common to both sexes, but women also have some special considerations and these are related to the way their bodies are built as well as common lifestyle activities.

Nnabagereka further encouraged women to spare time and rest.

“Despite the activities you do, spare time and have a rest so that you have a good health, that is when you shall be productive, she added.

She noted this year’s theme for the Conference Holistic women’s health a boost to sustainable development, is an indicator that females must pay special attention to these areas, as well as overall cleanliness, as part of a thorough personal hygiene routine and development.

Abatuuze Abakyala abeetunda wano e Buganda, bakukkulumidde poliisi okubasibako obulwadde bwa siriimu:

Ate nga banakazadde bano abamu balina abaana abato bebalabirira:

Abakyala bano mu Africa batuuse okulumiriza governmeti okubawa welfare nokubanonyeza emirimu egyobuntu bulamu:

 

By Ruth Nazziwa

 

Added 6th November 2019 

 

Dr. Karusa Kiragu-Gikonyo atwala ekitongole kya UNAIDS ng'akunga abakyala okukubiriza abasajja be babeera nabo okwettanira okukomolebwa kubanga nabo baganyulwamu kuba omusajja bwabeera omukomole, abeera muyonjo ekibasobozesa okwerinda endwadde z’ekikaba naddala siriimu.

 

ABAKAZI abeegattira ku kibiina ekikumaakuma bamalaaya ekya Alliance of Women Advocating for Change (AWAC) basisinkanye okukubaganya ebirowoozo ku bwe ngeri bayinza okwerinda akawuka ka siriimu n’okwekulaakulanya.

Bano abaabadde abanyiikaavu olw’engeri abakumaddembe gye babakwatamu mu ngeri ebatyoboola ate ne batabaganya kubaako gwe batuma ARV zaabwe nga bali mu makomera.

 

 Abamu ku bakungu ab'etaba mu lukungaana lw'abakyala.

 

Omu ku bo, Shillah Natenda annyonnyola:

“Poliisi etusanga gye tukolera n’etuyoola naye engeri gye batukwatamu okututeeka ku kabangali yennyamiza. Bakusikaasikanya ne bakukwata ng’amagulu bagagadde! Ate bwe tubatuukirira ku nsonga ezitali zimu tebatuwuliriza kuba e bw’oba ogenzeeyo nga waliwo akutuusizsaako ogw’obuliisamaanyi , balwawo okukukolako.

Kino kituyisa bubi kuba ababeera batutuusizzaako obuzibu buno oluusi tebakozesa kondomu ne bateeka obulamu bwaffe mu katyabaga k’okufuna siriimu, embuto n’obulwadde obulala.

Abali ku ddagala bwe babaggalira nga balivaako kubanga tebalina ngeri gye bayinza kulifuna.” Munnamateeka, Eria Nawenuwe owa Alliance for Key Population Advocacy agamba nti bamalaaya balekebwa nnyo emabega mu nteekateeka y’ebyobulamu, okwerinda n’eddembe ly’obuntu,ekiteeka obulamu bwabwe mu katyabaga k’okusiigibwa n’okusaasaanya akawuka ka mukenenya.

Era bwe baba ku bunkenke n’okwekweka nga bakola obwamalaaya, nga Poliisi ebayigga, kibabeerera kizibu okwekuuma era tebasobola kukozesa bulungi bupiira, abalina akawuka bava ku ddagala lyabwe ate ne lye bayinza okukozesa okwekuuma erya “PREP” baba tebasobola kulifuna.

Babawadde amagezi okubuulirangako bannaabwe be bamira nabo eddagala nga bali mu kkomera abasobola okubaleetera eddagala lyabwe gye baba babasibidde baleme kulivaako kubanga kyabulabe eri obulamu bwabwe.

Ye Racheal Rongola okuva mu kitongole kya UNFPA agamba nti mu kunoonyereza kwe baakola baakizuula ng’abavubuka bangi abeenyigira mu bwamalaaya era ng’ekisinga okwennyamiza be bawala abato abayingira omulimu guno abali wansi w’emyaka 18.

Abaana bafuna okusoomoozebwa okw’enjawulo kuba tebalina bikozesebwa, abamu tebalina bazadde n’obuzibu obulala, kyokka bwe babeera mu mulimu guno, olw’okuba baba bato, tebafuna mukisa kwesalirawo kwekuuma nga batuuse mu kikolwa.

 

Racheal Rongola okuva mu kitongole kya UNFPA agamba nti mu kunoonyereza kwe baakola baakizuula ng’abavubuka bangi ab’enyigira mu mulimu gw’okutunda akaboozi era ng’ekisinga okwenyamiza b’ebawala abato abayingira omulimu guno , omuli abali wansi w’emyaka 18 naddala abali wansi w’emyaka 9, 10 ne 17 .
 
Abaana bafuna okusomoozebwa okwenjawulo kuba tebalina bikozesebwa, abamu tebalina bazadde n'obuzibu obulala. Kyokka bwe babeera mu mulimu guno, olw’okuba babeera bato, tebafuna mukisa kwesalirawo kwekuuma nga batuuse mu kikolwa ekibateeka mu bulabe bw’okufuna akawuka .

 

Agamba nti ku bano 40 ku 100 baazuulibwa okuba nga tebakozesa kondomu naddala nga bali ne bakasitoma baabwe ab’olulango ate nga babasinga emyaka. Oluusi tebasobola kufuna kondomu n’ekirala ate bwe baba tebakozesezza kondomu, babasasula ssente nnyingi.
 

Okunoonyereza kuno kwakolebwa mu bitundu bya Kampala, Kawempe, Makindye, Nakawa, Bwaise, Namayingo, Arua n’ebirala.

 

 

Kakati no olwobusungu obungi enyo obwabazadde wano e Buganda, abazadde abamu kyebavudde betwalira amateeka mungalo zaabwe eri abasajja abatawanya abaana abato abalabika nga nabo abaana bano betunda.

 

 

Dr. Karusa Kiragu-Gikonyo atwala ekitongole kya UNAIDS akunga abakyala okukubiriza abasajja be babeera nabo okwettanira okukomolebwa kubanga naba baganyulwamu kuba omusajja bw’aba omukomole, abeera muyonjo ekibasobozesa okwerinda endwadde z’ekikaba naddala siriimu.

Dr. Karusa annyonnyola nti siriimu akyali kizibu kinene nnyo mu ggwanga wabula, abantu 84 ku buli 100 abalina akawuka bakimanyi nti bakalina ekitegeeza nti ebitundu16 ku 100 abalina akawuka ka bebatamanyi.

 



 Country Director wa UNAIDS ng'alaga omukebe gw'eddagala lyomira ery'emyaka etaano. Ebifaananyi byonna bya RUTH NAZZIWA
 
Mu basajja ate nga be bakasitoma abakulu mu mulimu guno, abasajja abalina akawuka, 60 ku 100 bokka be bali ku ddagala kyokka ng’ekitundu ku bbo be bamira obulungi eddagala lyabwe.
Nb
Ekibiina kino mu Buganda kirina okutandiika okusaba governmenti welfare nga abatuuze abakadde bwebafuna welfare emitwalo 3 buli mwezi. Kubanga ba members bangi balina abaana ate nga nemirimu egyokukola egyobuntu bulamu oba egyobugunjufu okwebezaawo tegilabika.
 
 
Abakyala mu Africa abeetunda nga omulimu gwaabwe 
 
Banakazadde bensi ya Buganda mu Africa Abakyala bano tebasaanidde kusigala mabega, nga munsi nyingi nyo Abakyala bangi nyo bakola emirimu awamu nabasajja gyebakola nebawa nomusolo mungi nyo ddala okuyimirizaawo abantu baabwe. Ate wano e Buganda, tuleme okwerabira nti abakazi mu parliamentary democracy wa Bungereza, baali tebakirizibwa nakamu okukuba akalulu. Balwana nyo okukafuna. Kikwasa ennaku nga abakyala mu Africa, abalina omukisa kakano okukuba akalulu, ate bali mumuzanyo gwakwetunda nakutekebwako abakungu ba governmenti buli bilwadde byonna ebyakawumpuli nga ebikulene byabagenge mu baibuli ya Isa Masiya! Kibi nyo. Abagenge bano mu baibuli bagenda nga bakuba ebidde (bells) abantu balamu babaviire mumakubo!
Some one reading replies:
Ssembolo makes a point;
Guuunoo omukuutuu guuukiiliizaa okeeweemuura era kyoova olaabaa bukkkedde baliinaa ssengaaa,era baaba bayaambaa gwee eyaatoomelwaa endiiga kuuba omukiiraa gwoo teeguyyiimaa.
Answered:
Ssembolo ntegede kyogezaako okwewanamu. Naye no bano abakyala abakugu mumulimu guno kyoyogerako tekibagana kukola sente zaabwe mubuli ngeri zonna. Ensi ezaagwa edda eddalu okukola sente nga Ensi ya America, abakyala bano bakola sente nga tebakutte yadde kubasajja nga bano abakyala b'Africa bo bwebeyiya nebatuuka nokuyoola obulwadde obwabuli ngeri zonna mummwe ba Ssembolo! Mpozzi nga jjo juuzi abakyala bano nabo bwebaali bataamidde ono Minister wa NRM akumisa abantu ba Uganda empisa. Yabagaana okukola ebimansulo nokwelaga mu media video. Ate nga omusolo oguva mu mirimu nga gyinno ennaku zino governmenti nyingi munsi zonna zigweyunira. 
 
Okuva 1494 okutuuka 1910 ensi yonna yabonabona nobulwadde bwa Syphillis Abaganda bwebakazaako obulwadde bwa bazira. Gye myaka 449. Omukisa gwatuuka mu mwaka 1910/43 eddagala lyobulwadde bwabazira era nerikakasibwa okuwonya obulwadde buno. Abazira bano bafa bangi nyo nga agabatwaala mukugezaako okujanjjabibwa amanyi ago tebagalina. Nebasigala batyo nga bwebagenda balwaza nebanabwe bwebetenda nabo okuba abazira. Mbeera gwe Ssembolo nerinya eryo nandirekedawo okulikozesa bwosoma okubonabona okuli mubulwadde. Okwemetta obulwadde(kawumpuli) nga kyeyagalire ebiro bino mumalwaliro agali wano e Buganda, nakyo sikirungi nakamu.