Wano e Buganda, Omulangira David Kintu Wasajja aloopye Dr. Kasasa mu kakiiko ka Bamugemereire aka Uganda olwe ttaka ly'e Mutungo,  Buganda:

Ssekabaka Frederick Mutesa the parent bought the land in dispute in 1946.

 

Prince David Wasajja Kintu, younger brother to Kabaka Ronald Muwenda Mutebi, has ran to the land commission to save family land, that was stolen from his father Sir Edward Mutesa by the former Justice Benedicto Kiwanuka and ended up in the hands of Dr. Mohamed Buwule Kasasa. The contested block 397 Mutungo is now home to the Ministry of Defense headquarters, CMI, ISO and ESO and local communities of Mutungo. The royal family wants a resolve to the dispute that has led government to lose money in billions of shillings of  the tax payers money .

The good times for the Royal Family of Buganda. Mr David and Marion his wife holding their baby with the Kabaka of Buganda, King Ronnie Mutebi.

Omulangira Wasajja ng'annyonnyola ebizibu byalina ku ttaka lya Kitawe Ssekabaka Muteesa II, mu kakiiko k'ettaka aka governmenti ya wakati eya NRM. Ensonga zokubba ettaka mu Buganda zirinye wansi ne waggulu ebiro bino mu Buganda.

Ono ye musajja omuganda Dr. Muhammad Buwule Kasasa eyesimbye kubintu bya Ssekabaka Muteesa okubyetwalira nga yakabifunamu obuwumbi 2 nga yekobanye ne governmenti ya wakati eya NRM. Omukulu ono alinze okusasulwa governmenti obuwumbi 7 obusigaddeyo ku sente zomuwi womusolo.

Former Politician and Chief Justice Benedicto Kiwanuka (L) with a former Democratic Party President Paulo Kawanga Ssemwogerere (R) in the early 1970s. FILE PHOTO. 

 

Benedicto Kiwanuka illegally got the land registered in the names of Kwemalamala Kintu, then transferred it into the names of his company Victoria Investments and then into his names. However, after his death in 1972 the land was again unscrupulously transferred into the names of a one Dr. Mohamed Buwule Kasasa

 

Buwule alleges that Sir Edward Mutesa was financially bankrupt and wanted money and Buwule bought the land from him through Charles Migane Njonjo the former Kenyan attorney general, although there are no documents to that effect.

Olaba ne Ssekabaka Muteesa II nga akyali mulamu naye nga awangangusiddwa ebintu bye batandikirawo okubikwatamu okubitwala nokubyegabanya!

 

By Musasi wa Bukedde, Alice Namutebi

 

Added 29th January 2019

 

OMULANGIRA David Kintu Wasajja alumirizza mu kakiiko k’ettaka Dr. Muhammad Bawule Kasasa okubba ettaka lya kitaawe Ssekabaka Edward Muteesa erisangibwa ku kasozi Mutungo nga libalirirwamu ssente obuwumbi mwenda. 

Wasajja w'atuukidde okuddukira mu kakiiko nga Dr. Kasasa  Gavumenti yaakamusasulako obuwumbi obusoba mu bubiri  n'asigala ng'abanja obuwumbi musanvu!. 

Wasajja akiikiridde ab’olulyo Olulangira agambye akakiiko nti bamaze emyaka egisoba mu 13 nga bali mu kkooti lwa ttaka lino ly'akakasa nti lya kitaawe Ssekabaka Muteesa.

 

Wasajja ategeezezza omulamuzi Catherine Bamugemereire, ssentebe w’akakiiko k’ettaka nti Muteesa yafuna ettaka lino mu mwaka gwa 1946 nga lyamugulirwa ssenga we gw'ataayatudde mannya.

Agambye nti ekyapa kyali mu mannya ga Muteesa naye bwe yawaŋŋangusibwa n'addukira e Bungereza olukwe lw’okubba ettaka lye we lwatandikira nga lwalimu Baganda bennyini okuli  ne looya Ben Kiwanuka ne John Ssebalu.

Annyonnyodde akakiiko nti Muteesa ng’ali e Bungereza yawa mwannyina Omumbejja Nnaalinnya Mpologoma obuyinza  [powers of attorney] okulabirira ettaka lye lyonna n’okumaliririza liizi ze yali agabyeko kyokka Mpologoma teyasobola kubaako ky'akola ku ttaka kubanga Amin yamusiba n'amala omwaka mulamba mu kkomera.

Agambye nti ng'akyali mu kkomera waaliwo 'powers of attorney' endala enjingirire ezaafuluma nga ziraga nti Muteesa awadde Mpologoma obuyinza okutunda ettaka lye nga zino zaawandisibwa Ben Kiwanuka kubanga zaali ziraga nti ziva Bungereza.

Annyonnyodde nti ekiwandiiko kino ekijingirire ye yali entandikwa y’okubba ettaka lya kitaawe kubanga lyasooka kugenda mu mannya ga Paul Kintu Kwemalamala, eyategeeza nti Omumbejja Mpologoma ye yamutunza ettaka olwo ne lidda mu mannya ga kkampuni ya Lake View Properties, eyali eya Kiwanuka ne Ssebalu.

Wasajja alumirizza nti Ssengaawe Mpologoma bwe yava e Luzira yakakasa nti tatundanga ku ttaka lya Muteesa ate ne Muteesa ng’ali mu buwaŋŋanguse naye yakakasa nti tatundangako ku ttaka era ebiwandiiko Abazungu baabitereka bulungi okukakasa ensonga yaabwe.

Ayongeddeko nti Dr. Kasasa yali mu lukwe ne ba Kiwanuka ne Ssebalu okubba ettaka lya Gavumenti  kubanga mu kiseera we yagulira ettaka okuva ku kkampuni ya Lake View yali yagalwa dda era bagezaako okuteeka envumbo ku ttaka obutaligula ng'aziggyako.

Wasajja mu kakiiko abadde awerekeddwaako mwannyina, Nnalinya Kagere ne balooya;  Medard Ssegona ne Muzamiru Kibeda; n'asaba akakiiko okuyingira mu nsonga zaabwe kabaddize ettaka lya kitaabwe Ssekabaka Muteesa.

NB

Obanga ebintu ebya Ssekabaka bikwatibamu bwebityo olwo ebyabantu babulijjo kifanana kitya wano e Buganda?

 

Ensonga zino zirina okwongera okulabula omuganda obutejjako ttaka. Era bwotunda ettaka olwamaddu ga sente olina okugenda ewa muganda munno mpozzi naye nalyooka akuguza kuttaka nate. Ggwe omugwiira mpozzi funa lease kubanga era jova olinayo ettaka.

 

Abakungu bo bwa Kabaka bwa Buganda balabika mu governmenti ya NRM gyebagade enyo ate tebajja kuva mu ma kkooti kumisango gye ttaka lya Buganda. Jjajja wabwe Muteesa I bo abazunga yabagamba nti Ettaka lya Buganda maama ayonsa. Bwenamugabira gwe omuzungu alimba mbu tolina ttaka lilyo, nze nayonka kiki okulya emmere nzikute awamu nabantu bange?